Ennaku zino abakyala bangi bagala nnyo okwagala abasajja abalina omubiri omulungi nga tebalina mbuto.

Abakyala bagamba nti abasajja nga tebalina embuto bategeera ensonga z’omu kisenge ate banyumisa nnyo akaboozi okusinga kw’abo abazirina.

Winnie Nwagi
Winnie Nwagi

Okusinzira ku ka vidiyo ku mukutu ogw’omuyimbi Winnie Nwagi, omusajja eyabadde alina olubuto bambi yalemereddwa okuzina sikwizi wadde yabadde ayagala nnyo.

Kino kiraga nti y’emu ku nsonga lwaki abakyala bagala nnyo obusajja obutono.

Mu Uganda, Nwagi y’omu ku bakyala abasobodde okuyimirizaawo ekisaawe ky’okuyimba era asobodde okukuba ennyimba mpitirivu nnyo omuli Fire Dancer, Kano Koze, Show me, Musawo, Katono Katono, Olukoba n’endala.