Abayizi 23 aba yunivasite y’obusiraamu eya Islamic University in Uganda (IUIU) abagobeddwa ku yunivaasite, bajjulidde nga bawakanya ekibonerezo ekyabawereddwa.

Okusinzira ku mwogezi wa Yunivaasite eno Rehema Katono, baliko abayizi 23 beebaakangavudde nga 10 ku bbo baagobeddwa olw’okwenyigira mu kunwya omwenge, obubbi n’okufuna embuto nga tebali mu bufumbo.

Abayizi bagobeddwa okumala omwaka mulamba kyoka olukiiko olukwasisa abayizi empisa ku yunivaasite lwawadde abayizi sabiti emu, okujjulira singa bawakanya ekibonerezo ekibaweereddwa.

Abaana abatikirwa mu 2017
Abaana abatikirwa mu 2017

Wabula abamu ku bayizi bagamba nti tebafunye kuwulirizibwa kumala mu kakiiko ne bagobwa era bbo bajjulidde.

Abayizi bawandikidde olukiiko olukulembera yunivaasite okuwakanya ekibonerezo ekyabawereddwa.

Bbo abakulira yunivaasite balabudde abayizi abasomerayo nga bwewatali muyizi agenda kuttirwa ku liiso singa abaako etteeka lyonna ly’amenya erifuga ettendekero lyabwe.