Kyaddaki omuyimbi Jose Chameleone apondoose neyetondera munnamawulire wa Bukedde TV Josephat Seguya ow’olugambo ku by’okutwalira amateeka mu ngalo.

Chameleone bamukubye mu mbuga z’amateeka era Seguya yaduukidde ku Poliisi y’e Katwe ng’alumirizza okumukuba n’okutisatiisa okumutta.

Chameleone alumiriza Seguya nti yamuviriddeko okuggwa mu kisaawe ky’okuyimba omuli okusosowaza ensonga za Robert Kalamagi gwe bayokera mu maka ge ku kyalo Seguku oluvannyuma n’afiira mu ddwaaliro e Mulago gye yali atwaliddwa okufuna obujanjabi mu 2012.

Mungeri y’emu Chameleone agamba nti Seguya asukkiridde okulingiriza famire ye omuli okwogera ku mukyala we n’abaana.

Bwe yabadde ku mukolo gw’omuyimbi Catherine Kusasira ng’ayanjula bba Fred Serugga mu bazadde ku kyalo Lwogi mu Luweero, Chameleone yagwikiriza Seguya era yamulabudde okumwesonyiwa kuba asukkiridde okutattana erinnya lye kyoka oluvanyuma Chameleone yakubyekubye Seguya.

Wabula Seguya agamba nti tayinza kukiriza abantu ng’omuyimbi Chameleone kutwalira amateeka mu ngalo n’okutyobola eddembe lya bannamawulire.

Seguya ne Chameleone
Seguya ne Chameleone

Seguya era agamba nti Chameleone yayungudde ekibinja ky’abavubuka okumutusaako obulabe era y’emu ku nsonga lwaki aduukidde ku Poliisi y’e Katwe, Chameleone akwatibwe avunaanibwe, obwenkanya bubeewo.

Wabula Omuyimbi Chameleone asobodde okwetonda era asabye Seguya batuule bombi bagonjole ensonga okusinga okugenda mu kkooti.

Mungeri y’emu agambye nti Seguya mukwano gwe nnyo nga tayinza kumukuba kuba bavudde wala nnyo.

Bryan White
Bryan White

Chameleone okwetonda, yegatiddwako omugagga Bryan White (Brian Kirumira) ssenkulu wa Bryan White Foundation.

Bryan White agambye nti agenda kuyita Seguya batuule n’omuyimbi Chameleone bagonjole ensonga zaabwe okusinga okudukira mu kkooti.