Poliisi ekakasiza nti omusirikale waabwe ACP Siraje Bakaleke akulira okusomesa ebyobufuzi mu poliisi, baamuyimirizza.

ACP Bakaleke baamuyimirizza n’abaserikale abalala bana (4) okuli ASP Herbert Akankwasa, Robert Ayebare, Kaneth Zirintusa ne Robert Asiimwe okumala ekiseera ekitali kigere basobole okunoonyerezebwako ku by’okuwamba n’okunyaga ssente ku Bakoleya abaali bazze mu ggwanga lino Uganda okusuubula zaabu okuli Park Seunghoon ne Jang Shingu Un mu Febwali, 2018.

Ensimbi ezaavaako obuzibu zaali emitwalo gya ddoola 40 (mu za Uganda akawumbi kamu n’obukadde 400) era kigambibwa nti ACP Bakaleke ne banne bazitwala.

Mu kiseera kino Poliisi esobodde okufuna abajjulizi basatu (3) okulumiriza Bakaleke ne banne omuli ASP Isaac Munezero eyali akulira eby’ekikessi ku poliisi e Katwe, George Kayongo ne Patrick Ochen, abaakwatibwa mu February wa 2018 ne batwalibwa e Nalufeenya nga bano basangibwa nga batutte Abakoleya ku kisaawe e Ntebe okubatikka ku nnyonyi ku buwaze ku biragiro bya Bakaleke eyali aduumira Poliisi ya Kampala South mu kiseera ekyo.

 ACP Siraje Bakaleke bwe yali ayogerako eri bannamawulire mu 2017

ACP Siraje Bakaleke bwe yali ayogerako eri bannamawulire mu 2017

Abakoleya baasimattuka okuzzibwa e Korea, oluvannyuma lw’abaserikale ku kisaawe e Ntebe okwekengera engeri abaserikale b’e Katwe gye baali babawalaawala nga baagala bave mu ggwanga mu bwangu, bbo okusobola okulya ssente zabwe.

Kigambibwa Abakoleya beekubira enduulu eri omuwabuzi wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku by’okwerinda General Salim Sale eyategeeza Pulezidenti era nabiyingiramu ekyavako abasirikale basatu (3) abaleteddwa nga abajjulizi okukwatibwa.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Emilian Kayima agambye nti Poliisi etandiise okunoonyereza era singa bafuna obujjulizi obumala, Bakaleke waakutwalibwa mu kkooti eza bulijjo avunaanibwe.

Kayima era agambye nti mu kiseera kino Bakaleke takirizibwa kukola mulimu gwona ogwa Poliisi okutuusa nga bakomekereza okunoonyereza kwabwe.