Omuyimbi Edrisa Musuuza amanyikiddwa ennyo nga Eddy Kenzo alabudde muyimbi munne Bebe Cool okomya okulowooza ng’omwana omuto.

Kenzo agamba nti Bebe Cool musajja mukulu nnyo era alina okuba eky’okulabirako eri abayimbi abalala n’abantu abamu mu ggwanga lino.

Bebe Cool
Bebe Cool

Mungeri y’emu agambye nti Bebe ali myaka 40 era alina okomya okulumbagana abayimbi abato kuba tekiyinza kuyamba kutunda kisaawe kyabwe eky’okuyimba.

Kenzo agamba nti ye mwana muto kyoka alina okuba eky’okulabirako eri abantu abalala kuba Omukama amuwadde ebintu ebingi nnyo ku myaka gye.

Bino okubyogera, yabadde ku Ttiivi ya BBS mu pulogulamu Kiri Kitya.