Poliisi mu Kampala ekutte omusajja abadde akulemberamu okutambuza enjaga mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo era abadde anonyezebwa Poliisi okumala emyaka egiwera.

Kyataka Mukiibi ng’amanyikiddwa nga “General” yakwatiddwa olunnaku olw’eggulo ku Market Street mu Kampala ng’aleese enjaga n’okufuna ssente okuva mu bakasitoma be.

Poliisi yatemezeddwako abatuuze, eyasobodde okumuketta nakwatibwa.

Amangu ddala nga General akwattiddwa, basobodde okwekebejja amaka ge, ku kyalo Bulenga era wasangiddwayo enjaga mpitirivu ddala, gy’abadde egeenda okutunda e Makindye, Kikoni ne Kisenyi.

Mu kiseera kino, omukwate ali mu kaduukulu ka Poliisi ku CPS mu Kampala.

Okusinzira ku Poliisi, abantu mu bitundu by’enzigota basukkiridde okweyambisa enjaga, nga mu 2016 bakwata abantu 2,163 abanywa enjaga n’abagikukusa.

Ku bagikukusa abakwatibwa 10 bannansi ba Nigeria, 4 ba South Africa, 3 bannansi ba Kenya ate 8 bannayuganda.