Poliisi etandiise okunoonyereza ku ssemaka eyasambye mukyala we mu lubuto, ekyaviriddeko okufa kwe.

Miriam Baseke myaka 16 abadde omutuuze w’e Nabirumbi mu ggombolola y’e Nabwigulu mu disitulikiti y’e Kamuli, yafiridde mu ddwaaliro e Kamuli oluvanyuma lwa bba myaka 22 okumusamba mu lubuto, omwezi oguwedde Ogwokuna ng’amulumiriza okugyema okwoza gambutusi ze n’okumulumya nga tamuwa kaboozi.

Omwogezi wa Poliisi mambuka ga Busoga, Michael Kasadha agambye nti wadde mukyala yafudde, Poliisi ekyagenda mu maaso n’okunoonyereza, ssemaka akwatibwe.

Omugenzi Baseke yafudde ng’ali lubuto kyoka yalese omwana myaka 2.