Kyaddaki Manejja wa Goodlyfe Geoffrey Kyagambidwa (Chagga) abikudde ebyama lwaki asemberedde okwesonyiwa okwasaganya omuyimbi Weasel Manizo mu kisaawe ky’okuyimba.

Chagga agamba nti ebya manejja byasoba dda era tayinza kwanukula kibuzo kyona ekikwata ku Weasel mu kiseera kino.

Manejja Chagga bw’abadde ayogerako ne Jonathan Nalebu owa Galaxy FM omuwereza wa Pokopoko mu pulogulamu Mid Morning Tukoone agaanye okwanukula ensonga yonna ekwata ku Weasel.

Chagga wadde agaanye okwogera, akatambi ng’omuyimbi Weasel Manizo alangira abawagizi be okusima amalaalo g’omugenzi Mowzey Radio okulya ebisigalira kongedde okusasaana emikutu egyenjawulo.

Weasel agamba nti akooye akamanyiro era y’emu ku nsonga lwaki yasobodde okweyambisa ebigambo webityo olw’obusungu.

Wabula omu ku mikwano gya Weasel ategerekese nga Shana agambye nti abantu okumanyira omuyimbi wabwe (Weasel) nga befudde nti bamwagala y’emu ku nsonga lwaki Weasel yavudde mu mbeera nabavuma kuba abadde akooye akamanyiro kabwe.

Kinnajjukirwa Mowzey Radio (Moses Nakintije Ssekibogo) yafa nga 1, February, 2018

Weasel n’omugenzi Mowzey Radio
Weasel n’omugenzi Mowzey Radio