Omuyimbi Weasel Manizo aswadde era bangi ku mikwano gye bagamba nti ateekeddwa okuvaayo mu lujjudde okwetonda.

Weasel alangidde abawagizi be okusima amalaalo g’omugenzi Mowzey Radio okulya ebisigalira bye kuba akooye akamanyiro.

Mungeri y’emu agambye nti ye yakoowa okuyimba kuba musajja mugagga, abantu balina okomya okumusaba ennyimba.

Weasel abadde ayanukula abamu ku mikwano gye ku mukutu gwa WhatsApp okomya okumusaba ennyimba kuba ye tasubira kuddamu kuyimba.

Weasel n'omugenzi Mowzey Radio
Weasel n’omugenzi Mowzey Radio

Kinnajjukirwa Mowzey Radio (Moses Nakintije Ssekibogo) yafa nga 1, February, 2018.

Wabula omu ku mikwano gya Weasel ategerekese nga Shana agambye nti abantu okumanyira omuyimbi wabwe (Weasel) nga befudde nti bamwagala y’emu ku nsonga lwaki Weasel yava mu mbeera nabavuma kuba yali akooye akamanyiro kabwe.