Poliisi y’e Kira ekutte omukyala myaka 26 ku by’okuzaala omwana w’obuwala namusuula mu kaabuyonjo nafiiramu.
Jackline Namuyonjo yakwatidwa mu kiseera kino ali mu kaduukulu ka Poliisi ku Kira Road.
Okusinzira ku sitetimenti ya Poliisi, abatuuze bebasobodde okubatemyako, oluvanyuma lw’okuwulira omwana alajjana ng’asuliddwa mu kinnya kya kaabuyonjo, ekiri mu mita 30.
Poliisi y’abazinya mwoto, yayitiddwa okutakiriza omwana kyoka bagenze okumutukako ng’amaze okufa.
Omuwala Namuyonjo akiriza eby’okusuula omwana mu kaabuyonjo kyoka ne gye buli eno akyaganye okuwa ensonga lwaki yakoze ekikolwa ekyo.
Yo Poliisi, ekyagenda mu maaso n’okunoonya obuvujjirizi.