Weasel Manizo n'omugagga Bryan White
Weasel Manizo n'omugagga Bryan White

Kyaddaki omugagga Bryan White (Brian Kirumira) avuddeyo ku byogerwa nti yagobye abayimbi bonna okuva mu kibiina kye ekya Bryan White Foundation ababadde bamuyambako okutambuza ekibiina.

Ebigambo bibadde biyitingana nti Bryan White yagobye abayimbi bonna ababadde ku Podium omuli Dr Jose Chameleone, DJ Michael, Weasel Manizo, Big Eye, Ssanyu Cindy ne bannakatemba omuli Alex Muhangi, Madrat ne Chiko n'abalala.

Omugagga Bryan White n'abakozi ba Podium
Omugagga Bryan White n'abakozi ba Podium

Wabula agambye nti bannayuganda basukkiridde obutasiima era y'emu ku nsonga lwaki bakyali mu mbeera mbi.

Bryan White akukuluma nti bangi ku bayimbi  batwala ssente ze mu nkukutu nga basuubiza okutambuliza awamu emirimu kyoka mu kiseera kino befudde nti bbo tebayinza kukola naye.