Poliisi y'e Rakai ekutte abafumbo babiri (2) okunyonyola ku mayitire g'omwana wabwe omulenzi abadde yakazaalibwa omwezi gumu.

Abakwatiddwa kuliko ssemaka Joseph Basiima, atemera mu gy'obukulu 24 n'omukyala Faridah Nantongo abatuuze ku kyalo Nateete mu ggombolola y'e Ddwaniro.

Okusinzira ku batuuze, bafunye amawulire nti ssemaka Basiima yakwata omwana namutuga mu bakambwe namutta ne bamuziika n'omukyala mu nimiro bokka babiri.

Lameck Kigozi
Lameck Kigozi

Wabula Lameck Kigozi agamba nti ensonga y'omwana okuttibwa bibuzabuza era y'emu ku nsonga lwaki abafumbo bakwatiddwa okuyambo Poliisi okunoonyereza.

Mungeri y'emu agambye nti bagenda mu kkooti okufuna olukusa okuzikula omulambo gw'omwana okuzuula ekituufu ekyatta omwana.