Poliisi mu Kampala ekutte omusajja wa bodaboda namba UDR 473B, eyasobeza ku muzungu munnansi wa  Germany.

Fahad Kasadha myaka 29 yakwatiddwa era emirimu gye, agitambuliza ku siteegi y'e Kamwookya.

Fahad Kasadha akwatiddwa
Fahad Kasadha akwatiddwa

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n'emirirwano Luke Oweyesigyire, omukyala omuzungu atemera mu gy'obukulu 19 yapangisa Kasadha okuva ku Acacia mall Kamwookya, okumutwala e Ggaba kyoka namutwala Kawanda, Kawempe era namusobyako.

Kasadha akirizza eby'okusobya ku muzungu era agambye nti gw’abadde mukisa okuva eri Omutonzi, kuba aludde nga yesuunga okwagala ku muzungu.

Oweyesigyire agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza era essaawa yonna bamutwala mu kkooti avunanibwe.