Poliisi y'e Mbarara ekutte omuyizi wa yunivaasite, Bishop Stuart ku by'okwewamba n'n'ekigendererwa eky'okufuna obutitimbe bw'ensimbi okuva mu bazadde be.

Evans Ariho atemera mu gy'obukulu 29 omutuuze w'e Bugamba mu ggombolola y'e  Rwampala yakwattiddwa.

Kigambibwa Ariho yeewamba yekka olunnaku olwa Ssande olw'eggulo, nakubira abazadde essiimu nti awambiddwa ng'abawambye  basaba obukadde 2 oba okuttibwa.

Abazadde mu kutya okungi, basindise ssente era akawungeezi k'olunnaku olw'eggulo ku Lwokubiri, mutabani waabwe (Ariho) yakomyewo nga yefudde ayimbuddwa, abazadde kwe kubuusabuusa ne baduukira ku Poliisi y'e Mbarara okuyambibwa.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu by'e Rwizi, Samson Kasasira, omuyizi Evans Ariho akwattiddwa, okuyambako Poliisi mu kunoonyereza.

Mungeri y'emu agambye nti kigambibwa Ariho yeewambye n'apeeka abazadde ssente, asobole okwetandikirawo omulimu kyoka Poliisi eteekeddwa okunoonyereza ku nsonga eyo.