Sipiika wa Palamenti era omubaka omukyala ow'e Kamuli, Rebecca Alitwala Kadaga atabukidde Gavumenti okuvaayo okutangaza eggwanga olw'abantu abawambibwa n'okuttibwa mu bitundu by'eggwanga ebyenjawulo.

Kadaga bwe yabadde mu Palamenti olunnaku olw'eggulo ku Lwokubiri (22, May, 2018), yagambye nti embeera eri mu ggwanga yetaaga obwangu obwanamaddala kuba obunkenke mu ggwanga bweyongedde.

Mungeri y'emu agambye nti okuwamba abakyala n'abaana, bangi ku bantu n'okusingira ddala abaana abawala batya okutambula ennaku ziino.

Kinnajjukira nti ku ntandiikwa ya sabiti eno ku Mmande (21, Mayi, 2018) Poliisi yafulumya alipoota ku bantu abakawambibwa n'okuttibwa mu ggwanga lyona.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Emilian Kayima, bakafuna emisango 20 ku bantu abawambiddwa abamu ne battibwa omuli n'omukyala Suzan Magara era abamu ku bantu abakyamu bakwatibwa dda.