Omuyimbi GNL Zamba afulumiza oluyimbi olutumiddwa Barbie Kyagulanyi ‘Super Woman’.

GNL Zamba myaka 32 y’omu ku bannayuganda abayimbi hip hop era asobodde okweyambisa ekitone kye okutendereza omukyala w’omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), Kyagulanyi Barbie Itungo bw’ali omukyala omuguminkiriza ennyo era agwanidde kya Maama Uganda.

GNL Zamba
GNL Zamba

Zamba agamba nti Barbie yesonyiwa abasajja abalina ssente nga muwala muto ekiraga nti mukyala wanjawulo nnyo ku bakyala abalala abagala abasajja olwa ssente zabwe n’ebintu.

Mungeri y’emu agambye nti Barbie afaayo nnyo ku makaage era mu luyimba, Zamba asobodde okuwaana Barbie buli kitundu ku mubiri gwe.

 

https://www.youtube.com/watch?v=am7mnUyoysA