Poliisi efulumizza amannya ag’abaana abafiiridde mu kabenje k’ekisenge kya Lohana Academy School mu kiro ekyakeseza ku Mmande.

Ekisenge kyagudde nga kyavudde ku nkuba, eyafuddembye akawungeezi k’olunnaku olwa Ssande ne kittirawo abaana mukaaga (6) ate abaana babiri (2) baasigadde bali mu mbeera embi nga bali mu ddwaaliro ekkulu e Mulago.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Afande Patrick Onyango, abamu ku baana kuliko Frank Ojura, Brian Ogwal, Bonny Omara ne Richard Odongo nga baava mu disitulikiti y’e Amolatar, Lira, Oyam, ssaako ne Gulu.

Omwana ow’okutaano ye Ivan Kabuye tamanyikiddwa gye yava okujja mu Kampala ate omwana ow’omukaaga, Poliisi ekyalemeddwa okuzuula ebimukwatako era kiteeberezebwa nti munnansi wa Kenya.

Onyango agamba nti emirambo gy’abaana bonna gikyali mu ggwanika ly’eddwaaliro ekkulu e Mulago okutuusa nga Poliisi ezudde aba famire.