Kyaddaki omuyimbi Chozen Blood avuddeyo ku bigambibwa nti ali mu laavu ne muyimbi munne Winnie Nwagi era embu ennaku zino beekuba amatooke.

Nga tusemberera okumalako omwaka ogwa 2019, ebigambo byayitingana nti Nwagi mukyala wa Chozen Blood nga n’okuyimba oluyimba ‘Yitayo‘ baali mu mukwano ogutagambika.

Chozen Blood abadde nnyo ku lusegere ne Nwagi era waliwo bu vidiyo nga bali bombi mu ssannyu ssaako n’okwemoola nga Nwagi alaga Chozen engeri gy’agonda ekiwato.

Wabula Chosen bwe yabadde ku NBS, yagambye nti, “ffena tukirabye tubadde mu busy seasons, buli muyimbi abadde akola, buli omu abadde Busy, Janwali bwe yatuuse nga tuli free, nze ne mukwano gwange ne tupulaninga Night Out, so Guvnor enyuma late, nga tetunageenda mu Club, waliwo ‘apartment’ wetwali nga tunyumirwamu nga twetegekera Night era twava ku apartment okugenda ku Club. Winnie Nwagi mukyala mulungi, siyinza kumwegaana bw’aba mukyala wange kuba mukyala mulungi nnyo“.

Ebigambo bya Chosen biraga nti ali mu laavu ne Nwagi oba okumwegomba kyokka ayinza okuba amutya nnyo okumugamba ekiri ku mutima gwe kuba mukwano gwe nnyo ate kirabika amusiinga obukulu.
Nwagi mukyala muzadde kuba yazaalako dda omwana we asooka mu musajja omulala newankubadde yamusuulawo dda.
Eddoboozi lya Chosen Blood