Kyaddaki ekitongole ekiramuzi kirambuludde ezimu ku nsonga ezaviriddeko kkooti okugattulula obufumbo bw’omubaka we Buikwe Nort Paul Musoke Ssebulime n’omuyimbi Judith Babirye, omubaka omukyala owe Buikwe.
Omubaka Ssebulime yaddukira mu kkooti etawulula enkaayana z’amaka e Makindye ng’agamba nti takyalina mukwano na Babirye era tebakyasobola kubeera bombi ng’asaba kkooti ebagattulule.
Mu kkooti, Ssebulime yawa ensonga ez’enjawulo, omulamuzi Olive Mukwaya Kazaarwe kwe yasinzidde okugattulula obufumbo.
Ezimu ku nsonga kuliko omukyala okumuyisaamu amaaso, obutakiriza kubeera bombi kuba yaddukira bweru wa ggwanga nga tebakiriziganyizza, ennyonta mu nsonga z’omu Kisenge, obutabaawo mpuliziganya wakati we ne Judith ate tewali na kibagatta kubanga teyamuzaalamu mwana era tebalina byabugagga byonna bye baakola bombi.
Omubaka Ssebulime yawasa Judith Babirye nga 27, July, 2018 ku mbaga eyali ku wooteeri ya Las Vegas e Bunga mu Munisipaali y’e Makindye ku luguudo lwe Ggaba era omusajja mu kkooti yagambye nti baasembayo okulabagana nga 22, December, 2018.
Wabula omwogezi w’ekitongole ekiramuzi Solomon Muyita agambye nti mu bufumbo, omusajja n’omukyala buli omu alina okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe era singa wabaawo alemwa, ensonga ne zigenda mu kkooti, omulamuzi alina obuyinza okusattulula obufumbo singa afuna obujjulizi obwetaagisa.
Muyita era agambye nti Judith Babirye yafuna ekiwandiiko ekiraga nti bamwetaaga mu kkooti okwewozaako kyokka yagaanye okuggya mu kkooti wadde okusindika omuntu yenna era omulamuzi Kazaarwe bwe yabadde awa ensala ye, yasinzidde ku bujjulizi bwa musajja yekka.
Eddoboozi lya Muyita