Omwaka 2018, omuyimbi Fik Fameica atandikidde mu kweteekateeka okuddamu okuwamba ekisaawe ky’okuyimba nga bw’abadde mu mwaka omukadde ogwa 2017.

Fik ne banne okuli Fefe Busi ne Tip Swizzy bafulumiza oluyimba lwe batumye “Movie”.
Polodyusa Artion Pro owa Jahlive yeyakoze oluyimba olwo.
Vidiyo bagikwatidde Makindye emabega wa Jahlive situdiyo era yakwatiddwa Polodyusa Frank Mugerwa.

