Poliisi ekutte omuvubuka eyakakanye ku muganda we omuto namusalako obulago era nafirawo.

Enock Chemtai myaka 24 yakwatiddwa, abadde asula ne bazadde be mu nju emu ku kyalo Sukuti mu gombolola y’e Kawowo mu disitulikiti y’e Kapchorwa.

Okwatibwa, kidiridde okusoberera ekisenge kya bazadde be, nasalako omuto we Sunday Mark myezi 4, obulago nafirawo era omusaayi ne gusasaanira ekiseenge kyona.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Sipi Rodgers Taitika, Chemtai akwatiddwa, ekiso ekyakozeseddwa, kizuliddwa era omubiri gw’omugenzi gwatwaliddwa mu ddwaliro ekkulu e Kapchorwa okwekebejjebwa.

Mungeri y’emu agambye nti Poliisi eteekeddwa okunoonyereza lwaki omwana omuto bwatyo, yenyigidde mu kutta munne ate mu ntiisa.