![Sheila Don Zella](http://galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2018/02/DON-PEC.jpg)
Omukyala Sheila Don Zella avuddeyo n’obukambwe oluvanyuma lw’omuyimbi Moses Nakintije Ssekibogo (Mowzey Radio) okuffa.
Don Zella atabukidde abantu abavuddeyo nga balumiriza Ssabavvulu Balaam Barugahara nti yalidde ssente z’amabugo, abantu ze bawaayo mu kuziika omugenzi Radio.
Don Zella eyaliko mukyala w’omuyimbi Big Eye agamba nti Ssabavvulu Balaam tayinza kulya ssente kuba musajja alina omukwano gw’abayimbi kuba y’omu kwabo abasobola okutekateeka n’okuziika kw’omuyimbi AK47.
Mungeri y’emu agambye nti singa teyali Balaam, abaana be abalongo bandifudde era ye Balaam akyali munda mu bulamu bwe.
Don Zella era atabukidde muganda w’omugenzi Radio ategerekeseko erya Frank nti akomye okwogera ebisongovu ku Balaam nti yalidde ssente z’amabugo kuba Balaam agenda kwekyawa yesonyiwe ensonga z’abayimbi.
![](https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2018/06/galaxy_logo.png)