Bangi ku bannayuganda, bewuunya engeri omuyimbi Sheebah Kalungi gyasobodde okuwanirira ekisaawe ky’okuyimba.
Sheebah myaka 28 mu Uganda y’omu ku bakyala abanene abalina ekitone era abogerwako mu kuyimba nti balina erinnya.
Asobodde okuyimba ennyimba mpitirivu nnyo omuli Omulembe, Nkwatako, Kisasi Kimu, Muwe, Wadawa, Twesana, Wantama n’endala kyoka oluyimba lwe John Rambo bangi ku bannayuganda babadde tebamanyi makulu galwo.
Sheebah bwe yabadde ku kivvulu ekimu, yagambye nti omuntu yenna gw’osinga okwagala, oba Taata, Maama, Muganzi wo, ye John Rambo.
Download the Galaxy FM 100.2 App and listen to the radio while on the move.