Kyaddaki Ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM Justine Kasule Lumumba ayanukudde ssentebbe atwala ebyokulonda mu kibiina kyabwe Dr Tanda Odoi ku ntambuza y’emirimu.
Kinnajukira sabiti eno, Kasule Lumumba yalangiridde nti abakozi bonna ab’oku kitebe kya NRM ng’oggyeko ye Ssabawandiisi, omumyuka wa Ssabawandiisi, omuwanika n’omumyuka we, ow’ebyensimbi, akulira ebyamateeka, akulira akakiiko k’ebyokulonda n’omumyuka we ne kaminsona w’akakiiko k’ebyokulonda be batagenda kugobwa naye abakozi abalala bonna bagobeddwa era bonna bagenda kufuna ssente zabwe ezibanjibwa za myezi 9.
Lumumba yagambye nti okubagoba kikoleddwa mu ngeri ya kibiina kwetereeza era yawabuddwa ssentebbe w’ekibiina Yoweri Kaguta Museveni kuba ekibiina kiri mu buzibu bwa ssente.
Ku nsonga eyo, Dr Tang Odoi yagambye nti okuyimiriza abakozi kivudde ku bukulembeze bubi bwa Kasule Lumumba kuba tawabulwa.
“Justine Kasule Lumumba mulungi amanyi nnyo okuzina ekibiina okufuna obuwagizi. Asobola okuzina amazina Amasoga, Amaganda n’asikiriza abalonzi ne batuwa obululu naye mukulembeze mubi nnyo! Teyatuuka na mu mutendera gwa mu matendekero ga waggulu ku ddaala nze lye natuukako era alina okwebuuza kuba ekibiina kigenda” Dr Odoi bwe yagambye bwe yabadde eyogerako eri bannamawulire.
Wabula Lumumba amwanukudde ” Dr Tang Odoi buli lunnaku mbadde simannyi nti yegoomba amazima gange, naye nakitegedde nti amazima agegoomba, naye ekyo tekigenda kung’aana kweyongera kuzina kuli mu butonde kwagala, bwaba nga ye okuzina kwamulema, aggye muyigirize okuzina kuba nze nasoma ne gye nasomera banjigiriza okuzina kuba buli mwana yalina okuyiga okuzina, so aggye muyigirize naye nandisabye akirekeraawo, mwani Lumumba analowooza ki?”.
