Abayimbi okuli Jose Chameleone, Sheebah Karungi ne Fik Fameica bagudde mu bintu era mu kiseera kino bali mu kweteekateeka okulinya ennyonyi.
Banno bayitiddwa okuyimbira abagenyi abagenda mu ggwanga erya America mu lukuηηaana olwa buli mwaka olwa Bannayuganda abali ku kyeyo abeetaggira mu kibiina kya Uganda North American Association (UNAA)mu ggwanga erya America okuva nga 30, August – 2, September, 2018.
Okusinzira ku Pulezidenti wa Bannayuganda abali mu America Mande Atigo, bannayuganda abali mu America bakiriziganyiza nti mu kiseera kino abayimbi abbo bebayinza okubawa essanyu.
