Omuwala Susan Magara eyabuzibwawo gye buvuddeko azuuliddwa nga yatiddwa, omulambo gusangiddwa nga gusuliddwa e Kigo ku luguudo lwe Ntebbe enkya ya leero.
Susan Magara myaka 28 yabuzibwawo nga 7, Febwali, 2018 bwe yali akyuse ku mirimu okudda awaka e Lungujja mu Gombolola y’e Rubaga okumpi n’amaka we yali abeera era yali akola ne kitaawe John Magara.

Susan Magara atiddwa
Susan Magara atiddwa

Emmotoka gye yali avuga tebagyamu kintu kyona ekiraga nti bali bagala muwala yekka.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigire bwatuukiriddwa ku nsonga, akakasiza okutibwa kwa Susan Magara era asuubiza okutuwa ebisingawo ku nsonga eyo.u