
Abakulira akakiiko akalwanyisa obuseegu kalabudde okangavula omuyimbi Sheebah Kalungi kuba asukiridde okusasaanya obusegu.
Akulira akakiiko Dr Annette Kezaabu bw’abadde eyogerako eri bannamawulire mu bitundu bye Kasee, agambye nti omuyimbi Sheebah asukiridde okwambala mu nyambala eyesitaza omuli obutimba okulaga ebitundu by’ekyama ekintu ekyonoona abantu n’okusingira ddala abaana abato.

Mungeri y’emu Dr Kezaabu agamba nti mu Uganda waliwo abantu bangi nnyo abakola omuli gwa ssenga kyoka nabbo basukiridde okweyambisa ebigambo ebisongovu mu kutambuza y’emirimu gyabwe, ekisanyalaza eggwanga lino.

Abakulira akakiiko bagamba bagenda kunoonya abantu bonna abasasaanya ebifanaanyi n’obutambi bw’obuseegu bavunanibwe kuba ennyamba embi eviriddeko n’abakyala okwatibwa.
