Omuyimbi David Lutalo ayongedde okulaga nti omwana alina talenti y’okuyimba kuba buli mwaka y’omu ku bayimbi abayimirizaawo ekisaawe ky’okuyimba mu ggwanga lino.
Lutalo omwaka 2017 yalina ennyimba mpitirivu nnyo omwali Kwasa, Wooloolo n’endala kyoka n’omwaka 2018 agutandise namannyi kuba ayingizaawo oluyimba olutumiddwa “Nkwagalira Ddala”.
Oluyimba Nkwagalira Ddala lwa mukwano era lugenda kuyamba nnyo abantu abali mu mukwano okuteeka ebisoko mu laavu yabwe.