Reverend Canon Kezekiah Kalule okuva e Luteete ne Geoffrey Sserunkuuma omu ku bakulembeze ku Bbowa Church of Uganda mu ggombolola y’e Makulubita mu disitulikiti y’e Luweero, bali mu katu era Poliisi etandiise okubanonyerezaako ku by’okabasanya abawala abato.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savannah Paul Kangave, Reverend Kalule kigambibwa yakabasanya omuwala myaka 16 era omuyizi ku Luteete Primary School ng’abadde abeera naye okuva mu 2007.

Ate Sserunkuma era kigambibwa ye yakabasanya omuwala myaka 17 era omuyizi ku Bbowa Primary School mu ggombolola y’e Makulubita.

Kangave agamba nti abaana bali ku sikaali y’ekitongole ky’obwanakyewa ekya Compassion international ekiri ku musingi gwe Kanisa era Reverend Kalule ne Sserunkuma kigambibwa, basobodde okweyambisa omukisa ogwo, okusendasenda abaana okubakozesa.

Paul Kangave
Paul Kangave

Omusango gwa Sserunkuma wadde yasobodde okuduuka guli ku Poliisi y’e Luweero ku fayiro namba SD Ref; 13/20/03/2018 ate ogwa Reverend Kalule CRB 22/2018 wadde yakwatiddwa era oluvanyuma yayimbuddwa kakalu ka Poliisi, essaawa yonna bamutwala mu kkooti.

Wabula bonna abavunaanibwa tebanaba kuvaayo okutangaza ku nsonga eyo.