Kyaddaki ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni, avuddeyo ku kitta bantu n’okuwamba okweyongedde obungi mu ggwanga lino ng’abantu bangi abawambiddwa oluvanyuma ne battibwa.
Pulezidenti Museveni agamba nti abatemu bonna abali mu kikolwa ekyo, bageenda kuyigibwa, bakwatibwe, bavunanibwe kuba n’abantu abawamba n’okutta omukyala Suzan Magala abasinga bakwatiddwa kyoka waliwo abakyali mu ggwanga erya South Africa.
Mungeri y’emu agambye nti obutabawo tekinologye mu kitongole ekya Poliisi kizibuwaza nnyo emirimu bwekituuka mu kunoonyereza.
Bino okubyogera, yabadde ku mukolo ogwategekeddwa Minisita wa Kampala Beti Olive Namisango Kamya ku Kanisa ya Martyrs Church e Nateeta okwebaza Omutonzi obwa Minisita, obulamu bwa nnyina Margaret Kamya okuweza emyaka 85, okujjukira obulamu bwa kitaawe Col George Wilson Kamya eyafa mu 1973 ne bba omugenzi Spencer Turwomwe eyafa emyaka 15 egyakayita.