Omuyimbi David Lutalo ayongedde okulaga nti y'omu ku bayimbi abalina talenti y'okuyimba mu ggwanga lino.
Lutalo alina ennyimba mpitirivu nnyo omuli Nkwagalira ddala, Kwasa, Guluma Yaguzza, Manya, Batusosola, n'endala era y'omu ku basajja abogerwako ennyo mu kisaawe ky'okuyimba.
Omuyimbi Lutalo bangi ku bannayuganda bagamba nti okuyimba "Live" ali ku mutindo gwa nsi yonna.
Bwe yali mu konsati Onsaanuula, yasobola okulaga nti okuyimba Live, okulaga eswagga, talenti, era okusinzira ku bawagizi be tewali ayinza kumwenkana.
https://www.youtube.com/watch?v=-po5gCiveDc