Mu nsi yonna, abawala bangi bagala nnyo okwegwanyiza baserebu kuba bangi balowooza basobola okubawa buli kyebetaaga.

Mu Uganda, abawala bangi bafunye embuto mu baserebu, abalala bakozeseddwa, abamu batikiddwa embuto kyoka baserebu ne bazegaana.

 Bebe Cool ne Kilule

Bebe Cool ne Kilule

Ku mukutu ogwa Instagram, Waliyo omuwala eyeyita Kilule Oliwialively ayongedde okulaga nti ayagala nnyo omuyimbi Bebe Cool.

Alina ebifaananyi bingi ddala nga yewaana nga bwali omuwala omulungi nnyo era abasajja bangi bayaayana nga bagala omukwano.

Mungeri y’emu alina ekifaananyi ng’ali ne Bebe, kyoka bangi ku bagoberezi be,  bamutabukidde nga bagamba nti ayagala kutabangula bufumbo bwa Bebe n’omukyala Zuena Kirema.

Omuwala Kilule, tanaba kwanukula ku nsonga eyo era tewali amanyi kituufu oba ddala ali mu mukwano ne Bebe.

Wadde abagoberezi bangi nnyo, balumbaganye Kilule ku lwa Bebe, kimanyiddwa nti Bebe alina omukyala n’abaana ate musajja mwesigwa nnyo eri mukyala we, ekiraga nti tayinza kwagala muwala mulala yenna.