Kyaddaki mwana muwala Hellen Lukoma avudde ku muddaala gw’abakyala abanoonya abasajja oluvanyuma lw’emyaka nga tafuna musajja alina waaya eyinza okumukakanya.

Kigambibwa Lukoma yawereddwa empeta ng’omusajja amusaba obufumbo “Engagement ring” era mbu omukolo gwabaddeko abantu batono nnyo n’okusingira ddala mikwano gye.

Lukoma y’omu ku bayimbi abalina ennyimba ezenjawulo omuli Deeper, Njagala gwe, Show Me n’endala era mbu mu kiseera kino ye takyanoonya.

Ebisingawo birindirire kuba omusajja agenda okukuba emmese ya Lukoma batono nnyo abamumanyi era tulina okunoonyereza okusobola okumutegeera.