Omugagga Charles Oryem amanyikiddwa nga Sipapa ayongedde okulaga nti alina ssente era tewali muntu yenna alina kumuyisaamu maaso.
Sipapa alangidde mugagga munne Bryan White (Brian Kirumira) obwavu nti aweddemu era alina okomya akajanja.
Wadde bangi ku bannayuganda bakaaba obwavu, Sipapa asobodde okulaga eggwanga nti ye alina ssente era akutte kamera y’essimu okulaga ssente zalina mu mmotoka eziri mu bukadde bwa Doola.
Ku nsonga ya Bryan White okutandikawo ekibiina kya Bryan White Foundation, Sipapa agambye nti teri muntu mwavu ayinza kutandikawo kibiina era omugagga Bryan White yakola nsobi.
Sipapa yeyamye okuyamba Bryan White okumuwola ssente singa avaayo nakiriza nti ali mu mbeera mbi, yetaaga kuyambibwa.
https://www.youtube.com/watch?v=C1lRiVOF4sM