Omuyimbi Emmanuel Kulishizi okuva e Jinja avuddeyo okulumiriza muyimbi munne David Lutalo okubba oluyimba lwe “Nkwagalira ddala”.

Mu Uganda, Lutalo y’omu ku bayimbi abalina talenti era abakoze nnyo okuyimirizaawo ekisaawe ky’okuyimba olw’ennyimba ze omuli Kwasa, Omuntu, Gunsitula, Embwa Y’ekatwe, Akantu, Ayi Mukama n’endala.

Mu kiseera kino, omuyimbi Kulishizi avuddeyo n’agamba nti yafulumya oluyimba “Nkwagalira ddala” emyaka 7 egyakayita kyoka nalemwa okulutambuza ku leediyo ne ttivi zonna mu ggwanga kuba yali talina ssente kyoka yewunyiza nnyo Lutalo okuyimba oluyimba lwe.

Agamba nti agenda mu mateeka okuvunaana Lutalo okubba oluyimba lwe kuba kimenya amateeka.

Ku nsonga eyo, Lutalo tanaba kugyogerako.