Minisita omubeezi ow’ettaka mu ggwanga, Persis Namuganza alabudde abavubuka okweddako n’okwegendereza bannabyabufuzi abamu kuba basemberedde okubakozesa ebintu ebitayamba ggwanga lyabwe.

Minisita Namuganza agamba nti abavubuka bangi nnyo abenyigidde mu kampeyini ya “Poeple Power our Power”, bangi bakwatiddwa, abamu battiddwa nga benyigira mu ntekateeka ezitayamba.

Mungeri y’emu alabudde abayimbi  abatekateeka okwesoga ebyobufuzi okufuna okutendekebwa n’okulambikibwa kuba singa tekikolebwa bolekedde okufuna obuzibu.

Bobi Wine
Bobi Wine

Namuganza era alabudde bannabyabufuzi abatandiise okwambala engoye emyufu okwetolola eggwanga lyona mu kisinde kyabwe ekya People Power our Power okomya okulowooza nti balina amannyi mangi nnyo mu ggwanga okusinga ekibiina kya National Resistance Movement (NRM).

Agamba nti singa bongera okubasomooza, yetegese okukowoola abavubuka mu ggwanga lyona abawagizi ba NRM okwambala ebyakyenvu okulaga nti balina obuwagizi.

https://www.youtube.com/watch?v=x9eEev8-mUA