Omuyimbi Lydia Jazmine asabbalazza abasajja ku konsati y’abayimbi aba B2C ku Freedom City sabiti ewedde ku Lwokutaano.

Aba B2C bakoze konsati esoose mu byafaayo byabwe era bafunye abantu bangi nnyo.

Mu konsati, bawerekeddwako abayimbi bangi nnyo kyoka Jazmine yalidde eswaga mu konsati yonna.

Ku siteegi yasobodde okuyimba ennyimba ezenjawulo omuli Nkubanja, You and Me, Guno Omukwano, Same Way n’endala endulu nesanikira Freedom City yonna.

https://www.instagram.com/p/BnhzHXZgd3z/?taken-by=lydiajazmine

Jazmine yayambadde obugoye obumpi obulaga omubiri era abasajja bawuliddwako nga bagamba nti “Omwana alina ebintu”.

https://www.youtube.com/watch?v=1ReLSo-GJvA