Minisita omubeezi ow’ensonga z’omunda mu ggwanga Mario Obiga Kania alangiridde nti tewali muntu yenna yakwattiddwa ku ttemu eryakoleddwa ku musirikale Muhammad Kirumira ne mukwano gwe Resty Mbabazi Nalinya sabiti ewedde ku Lwomukaaga nga 8, September, 2018, okumpi n’amaka ge mu bitundu bye Bulenga.

Minisita Obiga Kania agamba nti ebitongole ebikuuma eddembe, biyungudde abakugu okunoonyereza abatemu abenyigidde mu ttemu eryo kyoka waliwo abantu abayitiddwa ekitongole kya Poliisi kubigambibwa nti baliko kyebamanyi ku ttemu eryakoleddwa.

Omugenzi Muhammad Kirumira
Omugenzi Muhammad Kirumira

Okubyogera, yabadde mu Paalamenti, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna era yasuubiza okuvaayo n’alipoota ku ttemu eryo  amangu ddala nga Poliisi ezudde abatemu.

Ku nsonga eyo, sipiika wa Paalamenti, Rebecca Kadaga ayimiriza Paalamenti okubaganya ebiroowozo ku ttemu eryakoleddwa ku Kirumira ne mukwano gwe Resty, kuba kiyinza okutaataganya emirimu gya Poliisi gy’eriko okunoonya abatemu.