Kkooti y’amaggye e Makindye enkya ya leero ekubirizibwa Lt Gen. Andrew Gutti, egenda kuwa ensala yaayo oba ekiriza, omuyima w’akabinja ka Bodaboda 2010 Abudallah Kitatta okweyimirirwa oba nedda.
Kitatta avunaanibwa n’abalala 12 emisango gy’okusangibwa n’emmundu ssatu n’amasasi mu bumenyi bw’amateeka n’ebyambalo by’amagye.
Mu kusaba okweyimirirwa, yawaayo ensonga ezenjawulo omuli ssemaka alina abakyala n’abaana bateekeddwa okulabirira, musajja mugonvugonvu nga yetaaga obujanjabi, alina amaka ku byalo ebyenjawulo omuli Nakasajja, Masanyalaze e Najjanankubi ne Nkokonjeru cell e Kabojja mu ggoombolola y’e Nsangi.
Mu kkooti, yaleeta abantu basatu (3) okumweyimirira omuli Sulaiman Walusimbi, Muhammad Kibirige ne Matovu Abu.

Ssentebbe wa kkooti Lt Gen. Andre Gutti wakwesigama ku nsonga ezo, okusalawo oba Kitatta ayimbulwa ona nedda.
Kinajjukirwa nti omwezi Ogwokutaano, Kkooti y’emu yagaana Kitatta okweyimirirwa kuba ayinza okutataganya okunoonyereza.
Kitatta yakwatibwa January 20, 2018 ku woteeri ya Vine Tea e Wakaliga mu Lubaga. Abalala abavunaanibwa ne Kitatta kuliko kuliko Joel Kibirige , Matia Ssenfuka, Hassan Ssebatta, Jonathan Kayondo, Hassan Ssengooba, Ssande Ssemwogerere, John Ssebandeke, Husein Mugema, Amon Twinomujuni, Fred Bwanika, Ngobi Sowali ne Ssekajja Ibrahim.
Oludda oluwaabi lukulembeddwamu Shaban Sanywa ate Sienna Owomugisha yakulembeddemu balooya ba Kitatta.