Mwana muwala Sheila Gashumba ayongedde okulaga nti amattira nnyo ennyimba z’omuyimba Fik Fameica.

Sheila asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulaga ensi yonna nti oluyimba “Tonsukuma” olwa Fik lumukolera nnyo era asobodde okuyimba buli kigambo.

Wadde bangi ku bannayuganda balowooza nti Fik ne Sheila baagalana, tekirobedde Fik kuteeka vidiyo ku Instagram ye.

Fik y’omu ku bayimbi asobodde okuwamba emyaka ebbiri egyakayita mu kisaawe ky’okuyimba olw’ennyimba ze omuli Gwe Abisobola, Property, Kachima, Mafia, Kutama n’endala.