Robert Kyagulanyi Sentamu
Robert Kyagulanyi Sentamu

Omubaka wa Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Sentamu, amanyiddwa enyo nga Bobi Wine agamba mu malirivu okukulembera b’annayuganda bwebaba nga gwe beesizze.

Bobi myaka 36 agamba nti ye mumalirivu era asabye abantu bona okwegata buli omu otuukirize obuvunaanyizibwa bwe okusobola okutuuka ku kigenderwa, eky’okukyusa obuyinza mu ggwanga lino.

Okwogera bino, Bobi Wine abadde ayanirizza abagenyi abenjawulo abaze okumukulisa obulwadde nga bavudde mu bitundu ebye njawulo omuli, Jinja, Bugiri, Bugweri, ne bakkansala okuva mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo.

Robert Kyagulanyi Sentamu
Robert Kyagulanyi Sentamu

Agamba nti alina omutima omugumu okulembera eggwanga  wadde bayita mu mbeera ey’okunyigirizibwa.

Obugaanzi bweyongedde eri omuyimbi Bobi Wine era bangi ku bannayuganda n’okusingira ddala abavubuka abamwagaliza obukulembeze bw’eggwanga lino era balowooza nti mu mwaka 2021, agenda kwesimbawo okuvuganya ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni.