Omukozi wa Bukedde TV Nabitengero Fiona aka Fifi da Queen atandiise okunyikiza obufumbo bwe bwazaalidde bba Nsubuga Abudallah omwana.
Fifi asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okwebaza Omutonzi okumuwanguza olutalo era abadde mu ssannyu nnyo, “God I thank u fr letting me win this battle. Am so humbled”.
Wadde tasobodde kutegeza ekikula ky’omwana gwazadde, abantu bangi nnyo n’okusingira ddala ku mukutu ogwa Face Book bamuyozayozeza okutuuka ku buw
anguzi, anti olutalo lw’okuzaala.
Kinnajjukirwa nti Suudi Lukwago amanyikiddwa nga Suudi man yali yepikira Fifi da Queen era kigambibwa baliko mu mukwano kyoka Fifi okuzaalira bba Abudallah, kabonero akalaga nti Suudi asigadde mu maziga n’okunenya waaya okulemwa okukuba peneti obulungi.