Aba famire y’omugenzi ASP Muhammad Kirumira, basambaze ebibadde byogerwa nti mukyala w’omugenzi Mariam Kirumira yadduse awaka.

Okuva sabiti ewedde, amawulire gabadde gayitingana nti omukyala Mariam yadduse mu maka mu bitundu bye Bulenga.

Mariam eyakazibwako erya ‘Maama Sofia’ ye mukazi yekka omutongole Kirumira gwe yaleka, wadde nga bba yalinayo abakyala abalala be yazaalamu abaana.

Omugenzi Kirumira n'omukyala Mariam
Omugenzi Kirumira n’omukyala Mariam

Wabula okusinzira ku taata w’omugenzi Hajj Abubaker Kawooya, “amaka gawa omukyala ensisi n’ebirowoozo bingi nga buli ky’atunulako ajjukira obulamu bwe ne bba era amaziga ne gamuyitamu nga yeetaaga ekifo ekipya w’anaagumira. Abadde alina okutya nti abatta bba engeri gye batannamanyika, basobola okumutuusaako obuzibu kubanga amaka ago bagamanyi bulungi”.

Hajj Abubaker Kawooya
Hajj Abubaker Kawooya

Taata agaanye okwatukiriza ekifo omukyala Mariam gye yadduukidde kuba kiyinza okusindikiriza abantu abakyamu okumulumbagana.

https://www.youtube.com/watch?v=VIemTUWgxQs