Okuwuliriza omusango oguvunanibwa omusomesa ku yunivaasite y’e Makerere Professor Christopher Bakuneta, gwongedde okuzibuwala kuba oludda oluwaabi lulemeddwa okufuna omujjulizi.
Akulira oludda oluwaabi Catherine Akello, agamba nti Bakuneta yakaka omuyizi we, Vanesha Ntegesa, eyali mu mwaka gwe ogusooka mu kolegi ya Natural Science mu mwezi gwa March, 24th /2016 akaboozi k’ekikulu oluvannyuma lw’okumusanga mu garagi.
Enkya ya leero, omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Jane Francis Abodo awaliriziddwa okwongezaayo okuwuliriza omusango gwo, nga kivudde ku muwaabi wa Gavumenti Akello okutegeeza nti balemeddwa okufuna omujjulizi omukulu mu musango gwo Ntegesa kuba gwe bakozesa.
Akello agamba nti essiimu y’omuwala Ntegesa teriko ate ku yunivaasite y’e Makerere gye yali abbeera yavaayo dda.
Mu kkooti, Akello asabye omulamuzi Abodo okwongezaayo omusango basobole okunoonya omujjulizi omukulu.
Omulamuzi Abodo akirizza okusaba kw’oludda oluwaabi era omusango n’agwongezaayo okutuusa 4, Desember, 2018.
Prof Bakuneta yakwatibwa nga 28, March, 2016 nasindikibwa ku limanda mu kkomera e Luzira kyokka mu October wa 2016, omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Yasin Nyanzi yakiriza yeyimirirwe kakalu ka kkooti ku miriyoni emu ey’obuliwo.