Kkooti enkulu mu Kampala wansi w’omulamuzi Jane Francis Abodo yejjereza omussomesa ku yunivaasite y’e Makerere Polof Christopher Bakuneta, omusango, gw’okabasanya eyali omuyizi ku yunivaasite y’e Makerere.
Oludda oluwaabi, lugamba nti Bakuneta yakaka omuyizi we, Vanesha Ntegesa, eyali mu mwaka gwe ogusooka mu kolegi ya Natural Science, 24th, March, 2016 akaboozi k’ekikulu oluvannyuma lw’okumusanga mu garagi gye yali amupangisiza mu makaage ag’e Kawempe.
Prof Bakuneta yakwatibwa nga 28, March, 2016 nasindikibwa ku limanda mu kkomera e Luzira kyokka mu October wa 2016, omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Yasin Nyanzi yakirizibwa okweyimirirwa kakalu ka kkooti ku miriyoni emu ey’obuliwo.
Enkya ya leero, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Catherine Akello lutegezeza omulamuzi nti omusango tebakyamwetaaga olw’omujjulizi omukulu alumiriza Prof Bakuneta okumukozesa okwebulankanya mu kkooti entuula eziwera.
Wabula omulamuzi mu kuwa ensala ye agambye nti wadde Bakuneta agiddwako omusango, oludda oluwaabi lukyalina obuyinza okuddamu okumuyita mu kkooti ku misango gye gimu, egy’okabasanya eyali omuyizi we.
Mungeri y’emu Prof Bakuneta alagidde okutekayo okusaba kwe, okudizibwa ensimbi ze, akakadde kamu ke yateekayo mu kiseera ng’asaba okweyimirirwa.