Nnamwandu w’omugenzi Charles Muhangi, Patience Muhangi abikudde ekyama kyatebereza nti kyavuddeko bba (Muhangi) okufa.

Muhangi yasangiddwa afiiridde mu buliri ku makya g’Olwokuna mu makaage e Mawanga Buziga mu ggoombolola y’e Makindye, Kampala era aziikibwa leero ku Ssande ku kyalo Bumbire e Bushenyi.

Mu kusabira omwoyo gw’omugenzi mu kkanisa ya All Saints e Nakasero, Nnamwandu Patience yategezeza  abakungubazi ebyaliwo mu kiro ky’olunnaku Olwokusatu.

Mu kwogera kwe, Nnamwandu Patience yagambye nti, “Charles yakomawo ku ssaawa nga 8:00 ez’ekiro nga ndi mu tulo, era mutabami waffe ye yamugguliddewo. Ku ssaawa nga 11:00 ez’oku makya nnamuwulira akulungutana mu buliri ne nzuukuka okwetegereza kiki ky’akola kubanga nange nnalina okukeera okugenda okuggyayo omwana waffe ku ssomero e Gayaza. Bwe nnazuukuka nagenda okumwetegereza nga ndaba tali mu mbeera nungi”.

Mungeri y’emu agamba nti,”Twafuna akuuma okumukebera obulwadde bwe obwa sukkali, akuuma kasoma 44 ate ng’awo sukaali abeera alinnye nnyo kyokka ye Muhangi yabiwakanya n’ategeeza nti kasoma 4 n’obutundu 4 (4.4) era nagezaako okumuwakanya n’agaana ne mwesonyiwa.

Nnamwandu era agamba nti namuwadede ekirowoozo tufune akuuma akalala tuddemu tukebere tukakase, kyokka bwe nanoonyezza nga obuuma buweddemu, namugambye addeyo mu buliri awummulemu era nnamulese essimu ye agiwadde abaana bagizannyirako nga buliggyo.

Nnasimbudde okuva awaka okugenda ku ssomero okuggyayo omwana naye nnabadde naakayingira ggeeti y’essomero nga omu ku baana abato abasigadde awaka bankubira essimu ng’omu ku baana akaaba nti ‘Daddy’ afudde.

Omukyala agamba nti yakubidde omu ku baliraanwa be essiimu Dr. Kaggwa ekirungi yali tannava waka era okugenda okutuuka okwekebejja Charles nga yafudde dda era agamba nti Sukkaali alabika ye yavaako omutima okulemererwa kuba yali wagulu nnyo.

Muhangi wafiiridde, abadde ku mbiranye ne bagagga banne okuli Drake Lubega ne Mansoor Young lwa nsonga za ttaka mu Kampala.

Charles Muhangi
Charles Muhangi

Olutalo lweyongera ku ntandikwa y’omwezi oguwedde ogwa November nga 5, 2018 Muhangi bwe yawambye ettaka lya Qualicel Bus Terminal okutudde ebizimbe okuli ekya Qualicel (ekya Lubega) ne Nabukeera (ekya Yanga) oluvannyuma lw’okuteeka mu nkola ekiragiro kya kkooti Enkulu mu Kampala ekyamuwebwa mu 2017 nga kimulagira okweddiza ettaka, okutudde ebizimbe ebyo.

Wabula Nnamwandu agambye nti bba Charles abadde alina ebirowoozo bingi nnyo ku nsonga z’ettaka mu Kampala era nabyo biyinza okuba nga byasajjudde embeera ekyavuddeko sukkaali okulinya n’okufa kwe.