Brian Bagyenda myaka 29 mutabani wa Col Frank Kaka Bagyenda akulira ekitongole ekikettera munda mu ggwanga ekya ISO asabye kkooti akkirize omusango gw’obutemu ogumuvunaanibwa olwo kkooti emusaasire emuwe ekibonerezo ekisaamusaamu nga tamaze biseera bya kkooti bingi.
Omuvubuka ono Brian Bagyenda avunaanibwa okutta eyali muganzi we Enid Twijukye eyali asomera ku yunivasite y’e Ndejje.
Bagyenda yasoma by’addagala avunaanibwa ne mikwano gye ebbiri (2) okuli Vicent Rwahwire (28) ne Innocent Bainomugisha (24) nga bano bonna batuuze mu zooni ya Kamwanyi e Luzira mu Munisipaali y’e Luzira.
Kigambibwa nti nga 4, December, 2017 abavubuka beekobaana ne batta Twijukye nga basinziira mu maka ga Bagyenda agasangibwa ku luguudo lwa Njobe e Luzira olwo omulambo gwe ne bagusuula mu kibira ky’e Namanve e Mukono gye gwazuulwa nga 13 January 2017 nga gutandise okuvunda.