Barbie Itungo Kyagulanyi mukyala wa Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine awangudde “Award” ng’omukyala mu Uganda asobodde okusomesa abavubuka emirimu gy’emikono okwongera kwebyo bye bafuna mu massomero.

Barbie asiimiddwa ekitongole ekya The Aid Child Leadership Institute (ALI) ekyatandikibwawo okuyamba abavubuka okulwanyisa n’okwetangira akawuka ka mukenenya sako n’okubayigiriza emirimu egyenjawulo.

Omwaka oguwedde, ‘Award’ yawangulwa sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga, ate 2018 Barbie agiwangudde.

Ku nsonga eyo, Bobi Wine asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book, okusiima mukyala we Barbie era asobodde okumuwa ekitiibwa ekya ‘FirstLady’ olw’okuyamba abaana mu ggwanga lino.

Ku Face Book, Bobi Wine ayogedde