Abantu basatu (3) abavunaanibwa okutta eyali omulwanirizi w’eddembe ly’abaana Kenneth Akena begaanye omusango mu maaso g’omulamuzi Stephen Mubiru owa kkooti enkulu mu Kampala.
Banno okuli Mathew Kanyamunyu direkita wa Quantum Logistics Limited, muganzi we munnansi wa Burundi Cynthia Munwangari ne Joseph Kanyamunyu.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 12th, November, 2016 ku luguudo lwa Kampala- Jinja okuliraana ekibanda kya Malik ekitunda mmotoka mu maaso g’omulyango oguyingira mu kibangirizi kya bannamakolero e Lugogo Kanyamunyu ne banne batta Kenneth Akena eyali omukozi w’ekitongole ky’obwannakyewa eyali ezze mu Kampala okukyala kyokka ne bamutwala mu ddwaaliro lya Norvick mu Kampala nga befudde abamuyamba.

Kigambibwa mu mmotoka ya Joseph Kanyamunyu namba UAW 548M mwasangibwamu emmundu ekika kya ‘Pistol’ eteberezebwa okweyambisibwa okutta Akena.
Akena nga tannafa yategeeza muganda we John Paul Nyeko nti omusajja eyali amuleese mu ddwaaliro y’eyali amukubye amasasi oluvannyuma lw’okukolobola emmotoka ye.
Akena yali avuga Premio nti era yali adda ekyennyumannyuma, n’atomera emmotoka ya Kanyamunyu ey’ekika kya Prado TX.

Joseph Kanyamunyu Cynthia Munwangari ne Mathew Kanyamunyu mu 2016
Kanyamunyu agamba nti wadde Akena yatomera emmotoka ye ne bafunamu akagugulano, ssi y’eyamukuba amasasi wabula nti Akena yali ne muvubuka munne gw’ateebereza nti ye yakuba Akena essasi mu butanwa.
Omulamuzi Stephen Mubiru yayongezaayo omusango gwo okutuusa 21st, January, 2019 okuddamu okuwuliriza omusango gwo era yasobodde okwongezaayo okweyimirirwa kwa Kanyamunyu ne banne.
Olwavudde mu kkooti, Kanyamunyu ne muganzi we Munwangari batambulidde mu Land Cruiser okudda awaka.
Mu kkooti, abamu ku bantu beewunyiza omuwala omulungi nga Cynthia Munwangari okwenyigira mu kutta Akena era bawuliddwako nga bagamba nti obulungi bwe bwa musaayi kiswaza nnyo.