Omwogezi w’ekiwayi kya abasiramu e Kibuli Sheikh Nooh Muzaata Batte atabukidde Sheikh Umar e Nansana okwerimbika mu ddiini okuswaza obuyisiramu.
Sheikh Muzaata agamba nti Sheikh Umar musajja mufere, tategeera ‘Kulaani’ wabula ayongedde okugyeyambisa okubba abantu ng’abasuubiza okubalombera edduwa okuvunuka ebizibu omuli obwavu, endwadde n’ebirala.
Muzaata yeewuunyizza abantu abagenda ewa Umar okubasabira edduwa n’agamba nti naye kennyini (Umar) tasobola kwesabira dduwa emuggya mu bizibu ebingi by’alina kyokka n’adda mu kufere abantu.
Muzaata yagambye nti ebintu by’eddiini tebamala gabizannyiramu nti era babadde baasalawo okumukwasa Allah y’aba amweramulira. “Kulani tezannyirwako, ndowooza mulabye bw’etandise okwanika Umar mu bikolobero byonna by’azze akola ku baana b’abantu, ate mulinde Allah akyayongera okumusanyaawo,” Muzaata bwe yayongeddeko.
Muzaata okuvaayo okwambalira Umar kiddiridde abawala babiri okuvaayo ne bamulumiriza okubasobyako nga bagenze ewuwe okubalombera edduwa n’abazaalamu abaana kyokka n’atabawa buyambi.
Muzaata okuvaayo, kidiridde sabiti ewedde omuwala okuvaayo okulumiriza Sheikh Umar okumuzalamu omwana kyokka nalemwa okumujanjaba era y’emu ku nsonga lwaki omwana yafudde sabiti eno ku Lwokubiri ku myezi 9.